Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™
Oluyimba 6
Abemikwano
Muganzi wo alaze wa,
ggwe akira abakyala bonna obulungi?
Muganzi wo yakutte lya wa
tumukunoonyezeeko?
Omwagalwa
Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye,
mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa,
okulabirira ennimiro ye
n’okunoga amalanga.
Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe;
anoonyeza mu malanga.
Owoomukwano
Oli mubalagavu nga Tiruza,1
omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi,
era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera.
Tontunuulira nnyo
kubanga amaaso go gantawanya.
Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi,
eziserengeta okuva e Gireyaadi.
Amannyo go gali ng’ekisibo eky’endiga
eziva okunaazibwa;
buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo,
so tewali eri yokka.
Obwenyi bwo bw’obisse mu lugoye,
buli ng’ebitundu by’amakomamawanga.
Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga,
n’abazaana kinaana,
n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo,
ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo,
mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina
okusinga abalala, y’ansingira mu bonna.
Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa;
bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.
Abemikwano
Ani ono alabika ng’emmambya,
omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba,
alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye?
Owoomukwano
Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza
okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu,
okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa,
n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera.
Bwe nnali nkyali awo
emmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange.
Abemikwano
Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu;
komawo, komawo tukutunuleko.
Owoomukwano
Lwaki mutunuulira Omusulamu
ng’abali ku mazina ga Makanayimu?
Source notes (1)
- Footnote Tiruza kyali kibuga kya dda mu Kanani ekyalondebwa Yerobowaamu mu 930-909 bc okuba ekibuga ekikulu eky’Obwakabaka bw’omu Bukiikakkono
Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.
Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.