Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Oluyimba 5

Owoomukwano

Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange;

nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange.

Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange,

Nywedde wayini wange n’amata gange.

Abemikwano

Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.

Omwagalwa

Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira.

Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti,

“Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange,

owe wange ataliiko bbala,

kubanga omutwe gwange gutobye omusulo,

n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”

Nziggyeko ekkooti yange,

nnaagyambala ntya nate?

Nanaabye ebigere,

nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?

Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo,

omutima gwange ne gubuukabuuka.

Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange,

emikono gyange nga gitonnya mooli,

n’engalo zange nga zikulukuta mooli,

ku minyolo gy’ekufulu.

Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange,

naye muganzi wange ng’avuddewo,

yeetambulidde.

Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye.

Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.

Abakuumi baansanga

bwe baali nga balawuna mu kibuga;

baankuba, ne bandeetako ebinuubule,

ne batwala n’ekyambalo kyange,

abasajja abo abakuuma bbugwe.

Mmwe abawala ba Yerusaalemi,

mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange,

mumutegeeze ng’okwagala kwange

gy’ali bwe kunzita.

Abemikwano

Owange, kiki muganzi wo ky’alina

kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi?

Kiki muganzi wo kyasinza abalala

n’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo?

Omwagalwa

Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu,

atabula ne mu bantu omutwalo.

Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo;

n’enviiri ze zirimu amayengo,

era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.

Amaaso ge gali ng’amayiba

ku mabbali g’emigga egy’amazzi,

agaanaazibwa n’amata,

ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.

Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo,

obuleeta akaloosa akalungi.

Emimwa gye giri ng’amalanga

agakulukuta mooli.

Emikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabu

egiteekebwamu amayinja ag’omuwendo.

Omubiri gwe guli ng’amasanga

amayooyote agatoneddwa ne safiro.

Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira

ezisimbibwa mu zaabu ennungi.

Mu ndabika afaanana Lebanooni

omulungi ng’emivule gyayo.

Enjogera ye mpomerevu,

weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa.

Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange;

mmwe abawala ba Yerusaalemi.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.