Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Zekkaliya 10

Mukama Alirabirira Yuda

Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo;

kubanga Mukama y’akola ebire

enkuba n’etonnya,

olwo buli muntu n’afuna ebirime.

Kubanga bakatonda abalala

n’abalaguzi balaba okwolesebwa okw’obulimba;

ne baloota ebirooto eby’obulimba,

ne bagumya abantu eby’obulimba.

Abantu kyebava bazuŋŋana ng’endiga,

nga banyigirizibwa olw’obutaba na musumba.

“Obusungu bwange bubuubuukidde ku basumba

era nzija kubonereza abakulembeze ba Yuda,

kubanga Mukama ow’Eggye ajja

kulabirira endiga ze, ennyumba ya Yuda,

era alibafuula ng’embalaasi ye emwenyumiririzaamu ennyo mu lutalo.

Mu Yuda mulivaamu ejjinja ery’oku nsonda,

muveemu n’enkondo enyweza weema,

muveemu n’omutego ogw’akasaale

era muveemu na buli mufuzi yenna.

Bonna awamu balyoke babe ng’abasajja abazira ennyo mu lutalo

abatambulira mu bitoomi by’omu nguudo mu biseera eby’entalo.

Kubanga Mukama ali nabo,

balirwana ne bawangula eggye eryebagadde embalaasi.

“Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi

era ndiwonya ennyumba ya Yusufu,

ndibakomyawo

kubanga mbakwatiddwa ekisa.

Balibeera

nga be sseegaanangako

era ndibawulira

kubanga nze Mukama Katonda waabwe.

Olwo aba Efulayimu baliba ng’abasajja ab’amaanyi,

emitima gyabwe ne gisanyuka nnyo ng’abanywedde wayini.

Abaana baabwe balikiraba ne basanyuka,

omutima gwabwe gulisanyukira mu Mukama.

Ddala ndibawonya

ne mbakuŋŋaanya.

Ddala ndibanunula,

baddeyo babeere bangi nga bwe baabanga.

Newaakubadde nga nabasaasaanyiza mu mawanga,

naye balisinzira eyo mu nsi ezeewala ne banzijukira.

Bo n’abaana baabwe baliba balamu

era ne bakomawo gye ndi.

Ndibakomyawo okuva mu Misiri,

mbakuŋŋaanye okuva mu Bwasuli.

Ndibaleeta mu Gireyaadi ne Lebanooni

ne bajjula ensi ezo ne watasigalawo kabanga ka kubeeramu.

Baliyita mu nnyanja ey’okubonaabona;

ennyanja ewuluguma erikkakkanyizibwa,

n’obuziba bwa Kiyira bwonna bulikala.

Amalala ga Bwasuli galibaggwaamu

n’omugo ogw’obufuzi bwa Misiri gulimenyebwa.

Ndibafuula ba maanyi mu Mukama

era nabo balitambulira mu linnya lyange,”

bw’ayogera Mukama.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.