Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Oluyimba 3

Ekiro kyonna nga ndi ku kitanda kyange,

nalindirira emmeeme yange gw’eyagala,

ne munoonya naye saamulaba.

Nnaagolokoka ne ntambulatambulako mu kibuga,

mu nguudo ne mu bifo ebigazi;

nanoonya emmeeme yange gw’eyagala,

ne nnindirira naye saamulaba.

Abakuumi b’ekibuga

abaali balawuna mu kibuga, ne bansisinkana, ne mbabuuza nti,

“Mundabidde ku oyo emmeeme yange gw’eyagala?”

Twali twakayisiŋŋanya,

ne ndaba oyo emmeeme yange gw’eyagala.

Ne munnywegera ne simuganya kugenda,

okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange,

ne mutwala mu kisenge ky’oyo eyanzaala.

Mbakuutira mmwe abawala ba Yerusaalemi,

ng’empeewo n’enjaza ez’oku ttale,

temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala

okutuusa nga kwesiimidde.

Ani oyo ajja ng’ava mu ddungu,

afaanana ng’empagi ey’omukka,

asaabye ebyakaloosa ebya mooli n’omugavu,

okuva mu byakaloosa byonna eby’omusuubuzi?

Laba, kye kigaali kya Sulemaani,

ekiwerekeddwako abasajja ab’amaanyi nga nkaaga,

abalwanyi abazira abasingayo mu Isirayiri,

bonna balina ebitala,

era bamanyirivu mu kulwana;

buli omu n’ekitala kye mu kiwato kye,

nga beetegekedde entiisa ey’ekiro.

Kabaka Sulemaani yeekolera ekigaali

eky’emiti egy’omu Lebanooni.

Empagi zaakyo yazisiigako ffeeza,

ne wansi waakyo nga wa zaabu,

n’entebe yaamu ng’eriko olugoye lwa ffulungu;

ne munda nga mwaliire bulungi n’okwagala,

okw’abawala ba Yerusaalemi.

Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni,

mulabe ku Kabaka Sulemaani ng’ayambadde engule,

engule nnyina gye yamutikkira

ku lunaku olw’embaga ye,

ku lunaku omutima gwe kwe gwasanyukira.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.