Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Zabbuli 137

Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,

ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.

Ne tuwanika ennanga zaffe

ku miti egyali awo.

Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,

abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;

nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”

Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama

mu nsi eteri yaffe?

Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,

omukono gwange ogwa ddyo gukale!

Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange

singa nkwerabira,

ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako

okusinga ebintu ebirala byonna.

Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,1

ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;

ne baleekaana nti, “Kisuule,

kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”

Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,

yeesiimye oyo alikusasula ebyo

nga naawe bye watukola.

Yeesiimye oyo aliddira abaana bo

n’ababetentera2 ku lwazi.

Source notes (2)
  1. Footnote Nebukadduneeza bwe yazikiriza Yerusaalemi, bazzukulu ba Edomu baasanyuka okulaba ng’abalabe baabwe Abayisirayiri bazikiridde. Kino kyali kibi nnyo kubanga Abayisirayiri ne bazzukulu ba Edomu baaluganda. Bazzukulu ba Edomu bava mu Esawu
  2. Footnote Okukakasa nga tewaba n’omu ku b’omu kibuga ekiwambiddwa asigalawo, abaakiwambanga baabetentanga emitwe gy’abaana abato ab’omu kibuga ekyo ku lwazi

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.