Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Zabbuli 129

Oluyimba nga balinnya amadaala.

Isirayiri ayogere nti,

“Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”

Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;

naye tebampangudde.

Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye

era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,

kyokka Mukama mutuukirivu;

amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.

Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe

era bazzibweyo emabega nga baswadde.

Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba1,

oguwotoka nga tegunnakula.

Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.

Wadde abayitawo baleme kwogera nti,

“Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.

Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”

Source notes (1)
  1. Footnote Obusolya bw’ennyumba z’omu Isirayiri zaalina ettaka waggulu ku zo eryali litabuddwamu evvu n’omusenyu. Enkuba bwe yatonnyanga, mwamerangamu omuddo, kyokka omuddo ogwo gwakalanga mangu ddala olw’omusana okugwakako kubanga emirandira gyagwo tegyagendanga wala wansi mu kasolya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.