Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Zabbuli 123

Oluyimba nga balinnya amadaala.

Nnyimusa amaaso gange gy’oli,

Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.

Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;

n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we1,

n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,

okutuusa lw’alitusaasira.

Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,

kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.

Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,

n’okunyoomebwa ab’amalala.

Source notes (1)
  1. Footnote Mukama w’omuddu ne mugole w’omuddu omukazi baakozesanga bubonero okubaako kye bategeeza abaddu baabwe

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.