Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Engero 2

Empeera y’Okunoonya Amagezi

Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange,

n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,

era n’ossaayo omwoyo eri amagezi,

era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,

ddala ddala singa oyaayaanira okumanya

era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,

bw’onooganoonyanga nga ffeeza,

era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,

awo w’olitegeerera okutya Mukama,

era n’ovumbula okumanya Katonda.

Kubanga Mukama awa amagezi;

era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.

Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,

era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.

Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,

era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.

Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;

weewaawo buli kkubo eddungi.

Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo,

n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.

Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga

n’okutegeera kunaakukuumanga:

Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi,

n’abantu aboogera eby’obugwagwa,

abaleka amakubo ag’obutuukirivu

ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza,

abasanyukira okukola ebikolwa ebibi,

abanyumirwa eby’obusirusiru,

abantu abo be b’amakubo amakyamu,

era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.

Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,

n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,

eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe

era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.

Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,

n’amakubo ge galaga eri abafu.

Tewali n’omu agenda ewuwe adda

wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.

Kale tambuliranga mu kkubo ly’abo abatya Katonda

era onywerere mu makubo g’abatuukirivu.

Kubanga abatuukirivu balituula mu nsi,

era abo abagolokofu baligisigalamu.

Naye abakozi b’ebibi balifiirwa ebirungi eby’ensi,

n’abatali beesigwa balizikirizibwa.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.