Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Engero 13

Ensibuko y’Obugagga Obungi

Omwana omugezi assaayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawe,

naye omunyoomi tafaayo ku kunenyezebwa.

Omuntu asanyuka olw’ebirungi ebiva mu bibala bya kamwa ke,

naye atali mwesigwa yeegomba kuleeta ntalo.

Oyo eyeegendereza by’ayogera akuuma obulamu bwe,

naye oyo amala googera, alizikirira.

Omuntu omugayaavu yeegomba kyokka n’atabaako ky’afuna,

naye omunyiikivu byayagala byonna abifuna.

Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba,

naye omukozi w’ebibi yeereetera kunyoomebwa.

Obutuukirivu bukuuma omuntu omwesimbu,

naye okukola ebibi kuzikiriza omwonoonyi.

Omuntu omu ayinza okwefuula omugagga ate nga taliiko ky’alina,

ate omulala ne yeefuula okuba omwavu so nga mugagga nnyo.

Obugagga bw’omuntu buyinza okumununula,

naye omwavu talina ky’atya.

Ekitangaala ky’abatuukirivu kyaka nnyo,

naye ettaala y’abakozi b’ebibi ezikira.

Amalala gazaala buzaazi nnyombo,

naye amagezi gasangibwa mu abo abakkiriza okulabulwa.

Ensimbi enkumpanye ziggwaawo,

naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.

Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima,

naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu.

Omuntu anyooma ebiragiro aligwa mu mitawaana,

naye oyo awuliriza ebimulagirwa aliweebwa empeera.

Okuyigiriza kw’omuntu alina amagezi nsulo ya bulamu,

era kuggya omuntu mu mitego gy’okufa.

Okutegeera okulungi kuleeta okuganja,

naye ekkubo ly’abateesigibwa liba zzibu.

Omuntu omwegendereza akola amaze kulowooza,

naye omusirusiru alaga obutamanya bwe.

Omubaka omubi yeesuula mu mitawaana,

naye omubaka omwesigwa aleeta kuwonyezebwa.

Anyooma okukangavvulwa yeereetako obwavu n’obuswavu,

naye oyo assaayo omwoyo ku kunenyezebwa aweebwa ekitiibwa.

Ekyegombebwa bwe kituukirira kisanyusa omutima,

naye okulekayo okukola ebibi kya muzizo eri abasirusiru.

Oyo atambula n’abantu abagezi ageziwala,

naye oyo atambula n’abasirusiru alaba ennaku.

Emitawaana gigoberera aboonoonyi,

naye okukulaakulana y’empeera y’abatuukirivu.

Omuntu omulungi alekera bazzukulu be ebyobusika,

naye obugagga bw’omwonoonyi buterekerwa omutuukirivu.

Ennimiro z’abaavu ziyinza okuvaamu emmere nnyingi,

naye obutali bwenkanya ne bugyera yonna.

Atakozesa kaggo akyawa omwana we,

naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.

Omutuukirivu alya emmere ye n’akkuta,

naye abakozi b’ebibi basigala nga bayala.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.