Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™
Nekkemiya 1
Okusaba kwa Nekkemiya
Ebigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya:
Awo mu mwezi gwa Kisuleevu mu mwaka ogw’amakumi abiri1 bwe nnali nga ndi mu lubiri mu kibuga ekikulu ekya Susani,2 Kanani, omu ku baganda bange, n’ajja n’abamu ku basajja okuva mu Yuda, ne mubuuza ku bikwata ku kitundu ky’Abayudaaya ekyasigalawo, ne ku bifa mu Yerusaalemi. Ne bantegeeza nti, “Abaawaŋŋangusibwa abaddayo mu ssaza3 bali mu kabi kanene ne mu nnaku nnyingi; bbugwe wa Yerusaalemi yamenyebwa, era ne wankaaki waakyo yayokebwa omuliro.” Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne ntuula wansi ne nkaaba, ne mmala ebiro nga nnakuwadde, nga nsiiba era nga nsaba mu maaso ga Katonda w’eggulu. Ne njogera nti,
“Ayi Mukama Katonda w’eggulu, Katonda omukulu ow’entiisa, akuuma endagaano ye, era ayagala abo abagondera amateeka ge. Ozibule amaaso go, otege okutu okuwulira okusaba kw’omuddu wo kwe nsaba mu maaso go emisana n’ekiro ku lwa baddu bo abantu ba Isirayiri. Njatula ebibi bye twakola, ffe Abayisirayiri, nga nange n’ennyumba ya kitange mwe tuli. Twasobya mu maaso go, ne tutagoberera mateeka go n’ebiragiro byo bye watuma omuddu wo Musa.
“Jjukira ebiragiro bye wawa omuddu wo Musa, ng’oyogera nti, ‘Bwe mutaabeerenga beesigwa, ndibasaasaanya mu mawanga, naye bwe mulikyuka ne mukomawo gye ndi, ne mugondera amateeka gange, abantu bammwe abaawaŋŋangusibwa ne bwe banaabeeranga ku nkomerero y’eggulu, ndibakuŋŋaanyayo ne mbaleeta mu kifo kye neeroboza okubeerangamu Erinnya lyange.’
“Abo be baddu bo era be bantu bo be wanunula n’amaanyi go amangi era n’omukono gwo ogw’amaanyi. Ayi Mukama, otege okutu eri okusaba kw’omuddu wo n’eri okusaba kw’abaddu bo abatya erinnya lyo. Omuddu wo omusobozese okulaba ekisa mu maaso g’omusajja ono.”
Ebiro ebyo nnali musenero wa kabaka.
Source notes (3)
- Footnote Bino byabaawo oluvannyuma lw’emyaka kyenda mu gumu (91), ng’abaawaŋŋangusibwa bakomyewo; nga mu mwaka 446 bc.
- Footnote Susani ky’ekibuga bakabaka b’e Buperusi abasatu gye baabeeranga mu biseera eby’obutiti. Ekibuga ekyo kyali mu kiwonvu ky’omugga Tigiriisi.
- Footnote Obwakabaka bwa Buperusi bwalina amasaza asatu. Essaza lya Yuda lyafugibwanga mu Samaliya.
Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.
Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.