Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Balam 17

Mikka n’Ebifaananyi bye Ebyole

Waaliwo omusajja eyabeeranga mu nsi ey’ensozi Efulayimu, erinnya lye Mikka. N’agamba nnyina nti, “Ebitundu bya ffeeza olukumi mu ekikumi1 ebyakubulako, n’okukolima n’okolima, nga mpulira, laba, effeeza eyo nze njirina. Nze nagitwala.”

Awo nnyina n’amugamba nti, “Mwana wange, Mukama Katonda akuwe omukisa.”

Awo bwe yakomyawo ebitundu bya ffeeza ebyo olukumi mu ekikumi, eri nnyina, nnyina n’amugamba nti, “Mpaayo effeeza eno eri Mukama Katonda, okuva mu mukono gwange ku lw’omwana wange, ekolebwemu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse, era ndimuzza gy’oli.”

Awo bwe yazza effeeza, nnyina n’addira ebitundu ebikumi bibiri ebya ffeeza2, n’abiwa omuweesi wa ffeeza, n’abikolamu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse. Ne biteekebwa mu nnyumba ya Mikka.

Omusajja oyo Mikka yalina essabo. N’akola efodi, n’ebifaananyi ebyole n’ayawula omu ku batabani be okuba kabona we. Mu biro ebyo tewaaliwo kabaka mu Isirayiri, era buli muntu yakolanga nga bw’alaba.

Ne wabaawo omuvubuka ow’omu kika kya Yuda nga Muleevi, eyabeeranga mu Besirekemuyuda. N’ava mu kibuga kya Besirekemuyuda n’atandika okunoonya gy’anaabera, n’atuuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu mu nnyumba ya Mikka. Wabula yali akyali ku lugendo ng’akyanoonya aw’okubeera.

Mikka n’amubuuza nti, “Ova wa?”

Omuleevi n’amuddamu nti, “Nva mu Besirekemuyuda, era nnoonya we nnyinza okubeera.”

Mikka n’amugamba nti, “Beera nange, obeere kitange era kabona, nange ndikuwa ebitundu bya ffeeza kkumi3 ng’empeera, era ne nkuwa n’engoye n’emmere.” Omuleevi n’abeera naye. Awo Omuleevi n’akkiriza okubeera n’omusajja oyo, era omuvubuka n’aba gy’ali ng’omu ku batabani be. Awo Mikka n’ayawula Omuleevi, era omuvubuka oyo n’abeera kabona we n’abeera mu nnyumba ya Mikka. Mikka n’ayogera nti, “Kaakano mmanyi nga Mukama Katonda anankoleranga ebirungi, kubanga nnina Omuleevi nga kabona wange.”

Source notes (3)
  1. Footnote ze kilo nga kkumi na ssatu
  2. Footnote ze kilo nga bbiri ne desimoolo ssatu
  3. Footnote ze gulaamu nga kikumi mu kkumi

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.