Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Yoswa 12

Bakabaka Abaawangulwa

Bano be bakabaka b’ensi Abayisirayiri be baawangula era bannyini nsi Abayisirayiri gye baatwala eri ebuvanjuba bwa Yoludaani, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw’ebuvanjuba.

Sikoni kabaka w’Abamoli eyafuga mu Kesuboni, okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’ekitundu ekya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yaboki, y’ensalo y’abaana ba Amoni; kino ng’ogasseeko n’ekitundu Gireyaadi,

ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw’ebuvanjuba, ne ku Nnyanja ya Araba y’Ennyanja ey’Omunnyo ku luuyi olw’ebuvanjuba mu kkubo ery’e Besu Yesimosi, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo wansi w’olusozi Pisuga,

ne ku nsalo ya Ogi kabaka w’e Basani, omu ku baasembayo ku ba Balefa eyafuganga mu Asutaloosi ne mu Ederei.

Era ye yali afuga olusozi Kerumooni ne Saleka ne Basani yenna okutuuka ku nsalo ey’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’ekitundu kya Gireyaali, ensalo ya Sikoni kabaka we Kesuboni.

Musa omuweereza wa Mukama n’abaana ba Isirayiri babawangula, era ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n’agiwa Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase.

Bano be bakabaka b’ensi, Yoswa n’abaana ba Isirayiri be baawangula ku luuyi lw’ebugwanjuba olwa Yoludaani okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki okwambuka okutuuka e Seyiri. Yoswa yagiwa ebika bya Isirayiri bigigabane nga bwe byali byayawulwamu. Mu nsi ey’ensozi, ne mu nsi ey’ensenyi ne mu Alaba ne ku bitundu ebya wansi ku nsozi, ne mu ddungu ne mu nsi ey’obugwanjuba mu Negevu, ensi ez’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Omukiivi, n’Omuyebusi.

Kabaka w’e Yeriko

omu,

ne kabaka w’e Ayi ekiriraanye Beseri

omu,

ne kabaka w’e Yerusaalemi

omu,

ne kabaka w’e Kebbulooni

omu,

ne kabaka w’e Yalamusi

omu,

ne kabaka w’e Lakisi

omu,

n’ow’e Egulooni

omu,

n’ow’e Gezeri

omu,

ne kabaka w’e Debiri

omu,

n’ow’e Gederi

omu,

n’ow’e Koluma

omu,

n’ow’e Yaladi

omu,

n’ow’e Libuna

omu,

n’ow’e Adulamu

omu,

n’ow’e Makkeda

omu,

n’ow’e Beseri

omu,

ne kabaka ow’e Tappua

omu,

n’owe Keferi

omu,

n’ow’e Afeki omu n’ow’e Lasaloni

omu,

n’ow’e Madoni

omu,

n’ow’e Kazoli

omu,

ne kabaka w’e Simuloni Meroni

omu,

ne kabaka w’e Akusafu

omu,

n’ow’e Taanaki

omu,

n’ow’e Megiddo

omu,

n’ow’e Kedesi

omu,

ne kabaka w’e Yokuneamu ku Kalumeeri

omu,

ne kabaka w’e Doli ku lusozi Doli

omu,

ne kabaka w’e Goyiyimu mu Girugaali1

omu,

n’ow’e Tiruza

omu.

Bonna awamu bakabaka amakumi asatu mu omu.

Source notes (1)
  1. Footnote Girugaali Si y’omu ne Girugaali oli aliraanye Yeriko

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.