Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Yobu 8

Birudaadi Ayogera

Awo Birudaadi Omusukusi n’addamu n’agamba nti,

“Onookoma ddi okwogera ebintu bino?

Era ebigambo bino by’oyogera n’akamwa ko binaakoma ddi okuba ng’empewo ey’amaanyi?

Katonda akyusakyusa mu nsala ye?

Oba oyo Ayinzabyonna akyusakyusa amazima?

Abaana bo bwe baayonoona eri Mukama,

n’abawaayo eri empeera y’ekibi kyabwe.

Kyokka bw’onoonoonya Katonda,

ne weegayirira oyo Ayinzabyonna,

bw’onooba omulongoofu era ow’amazima,

ddala ddala anaakuddiramu

n’akuzzaayo mu kifo kyo ekituufu.

Wadde ng’entandikwa yo yali ntono,

embeera yo ey’enkomerero ejja kuba nnungi ddala.

Buuza ku mirembe egy’edda,

era onoonyereze ku bakitaabwe bye baayiga;

kubanga ffe twazaalibwa jjuuzi era tetulina kye tumanyi,

era ne nnaku ze twakamala ku nsi ziri ng’ekisiikirize.

Tebaakulage bakumanyise era bakutegeeze ebigambo bye mitima gyabwe

oba by’okutegeera kwabwe?

Ebitoogo biyinza okumera

awatali bitosi?

Biba bikyakula nga tebinnasalibwa,

bikala mangu okusinga omuddo.

Bw’etyo enkomerero bw’ebeera ey’abo bonna abeerabira Katonda,

essuubi ly’abatatya Katonda bwe libula.

Ebyo bye yeesiga byatika mangu,

ebyo bye yeesiga, nnyumba ya nnabbubi!

Yeesigama wuzi za nnabbubi ne zikutuka

azeekwatako nnyo naye ne zitanywera.

Ali ng’ekimera ekifukirire obulungi ekiri mu musana,

nga kyanjadde amatabi gaakyo mu nnimiro;

emirandira gyakyo nga gyezingiridde, okwetooloola entuumu y’amayinja,

nga ginoonya ekifo mu mayinja.

Naye bwe bakiggya mu kifo kyakyo,

ekifo ekyo kikyegaana ne kigamba nti, Sikulabangako.

Mazima ddala essanyu lyakyo liggwaawo,

ebirime ebirala ne bikula okuva mu ttaka.

Mazima ddala Katonda talekerera muntu ataliiko musango,

era tanyweza mukono gw’abakola ebibi.

Ajja kuddamu ajjuze akamwa ko enseko,

n’emimwa gyo amaloboozi ag’essanyu.

Abalabe bo balijjula obuswavu,

era n’ennyumba z’abakozi b’ebibi zirimalibwawo.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.