Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™
Yobu 40
Awo Mukama n’agamba Yobu nti,
“Oyo anoonya okuyombera ebitaliimu anaayombesa Ayinzabyonna?
Oyo aleeta empaka ku Katonda, amuddemu.”
Awo Yobu n’addamu Mukama nti,
“Laba, sisaanidde, kiki kye nnaakuddamu?
Emimwa kangibikkeko n’engalo.
Njogedde omulundi gumu, so siddemu;
weewaawo emirundi ebiri sseeyongere mulundi mulala.”
Awo Mukama ng’ali mu muyaga ogw’amaanyi n’addamu Yobu nti,
“Weesibe engoye zo onywere ng’omusajja.
Ka nkubuuze,
naawe onziremu.
“Onojjulula ensala yange ey’emisango;
ononsingisa omusango ggwe atuukiridde?
Olina omukono ng’ogwa Katonda,
eddoboozi lyo lisobola okubwatuka ng’erirye?
Kale nno yambala ekitiibwa n’obukulu
weesibe ekitiibwa n’okusukkuluma osukkulume.
Yolesa obusungu bw’ekiruyi kyo
otunuulire buli wa malala omusse wansi.
Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye
era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali.
Bonna baziikire wamu mu nfuufu,
emitwe gyabwe ogibikkire mu ntaana.
Nange kennyini ndyoke nzikirize,
ng’omukono gwo ogwa ddyo, gusobola okukuwa amaanyi.”
Amaanyi g’Envubu
“Laba ekisolo ekyefaananyiriza ng’envubu
kye natonda nga ggwe,
erya omuddo ng’ente,
nga kirina amaanyi mayitirivu mu kiwato kyakyo
amaanyi mangi mu binywa by’olubuto lwakyo.
Kiwuuba omukira gwakyo ne guba ng’omukira gw’omuvule
Ebinywa by’ebisambi byakyo byakwatagana nnyo.
Amagumba gaakyo gali ng’enseke ez’ebikomo;
amagulu n’emikono ng’emitayimbwa.
Kibalibwa mu bitonde bya Katonda ebisooka,
ate nga Katonda eyakitonda asobola okukisemberera n’ekitala kye.
Weewaawo ensozi zikireetera emmere,
eyo ku nsozi, ensolo ez’omu nsiko zonna gye zizannyira.
Wansi w’ebisiikirize by’emiti egy’amaggwa, we kyebaka,
ne kyekweka mu bitoogo ne mu bitosi.
Ebisiikirize by’emiti bikibikkako,
emiti egiri ku mabbali g’omugga ne gikibikkako.
Laba omugga ne bwe gusiikuuka tekyekanga;
kiba kinywevu, Yoludaani ne bwajjula n’abooga.
Eriyo omuntu yenna ayinza okukikwata,
oba okuyuza ennyindo yaakyo n’akasaale?”
Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.
Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.