Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Yobu 30

“Naye kaakano bansekerera;

abantu abansinga obuto,

bakitaabwe be nnandibadde nteeka

wamu n’embwa ezikuuma endiga zange.

Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki?

Abantu abaali baweddemu amaanyi ag’obuvubuka bwabwe,

abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala,

bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obw’ekiro.

Banoga ebiragala ebiwoomerera ng’omunnyo mu bisaka,

enkolokolo ez’omwoloola y’emmere yaabwe.

Baagobebwa bave mu bantu bannaabwe,

ne babaleekaanira gy’obeera nti, baali babbi.

Baawalirizibwa okubeera mu migga egyakalira,

mu njazi ne mu binnya wansi mu ttaka.

Baakaabira mu bisaka ng’ensolo

ne beekweka mu bikoola by’emiti.

Ezzadde ly’abasirusiru abatalina bwe bayitibwa,

baagobebwa mu nsi.

Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba;

nfuuse ekyenyinyalwa gye bali,

abatanjagala abanneesalako,

banguwa okunfujjira amalusu mu maaso.

Kaakano Katonda nga bw’atagguludde akasaale kange, ammazeemu amaanyi;

beeyisizza nga bwe balaba mu maaso gange.

Abantu bano bannumba ku mukono gwange ogwa ddyo;

bategera ebigere byange emitego,

ne baziba amakubo banzikirize.

Banzingiza

ne banzikiriza,

nga tewali n’omu abayambye.

Banzingiza ng’abayita mu kituli ekigazi,

bayingira nga bayita mu muwaatwa.

Nnumbiddwa ebitiisa eby’amaanyi;

ekitiibwa kyange kifuumuuse ng’ekifuuyiddwa empewo,

era n’obukuumi bwange ne bubulawo ng’ekire.”

Okubonaabona kwa Yobu

“Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo,

ennaku ez’okubonaabona zinzijjidde.

Ekiro kifumita amagumba gange

era obulumi bwe nnina tebukoma.

Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ng’olugoye lwe nneebikka,

n’ensibibwa ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange.

Ansuula mu bitosi,

ne nfuuka ng’enfuufu n’evvu.

“Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu;

nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.

Onkyukira n’obusungu;

onnumba n’omukono gwo ogw’amaanyi.

Onsitula mu bbanga n’ongobesa empewo,

n’onziza eno n’eri mu muyaga.

Mmanyi nga olintuusa mu kufa,

mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna.

“Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa

ng’akaaba mu kunyigirizibwa kwe.

Saakaabira abo abaali mu buzibu?

Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu?

Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja;

bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja.

Olubuto lwange lutokota, terusirika;

ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde.

Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana;

nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi.

Nfuuse muganda w’ebibe,

munne w’ebiwuugulu.

Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka;

n’omubiri gwange gwokerera.

Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba

n’akalere kange ne kavaamu eddoboozi ery’ebiwoobe.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.