Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Yobu 23

Yobu Ayanukula

Awo Yobu n’addamu nti,

“N’okutuusa leero okwemulugunya kwange kubalagala,

omukono gwe gunzitoowerera wadde mbadde mu kusinda.

Singa nnali mmanyi aw’okumusanga

nandisobodde okulaga gy’abeera!

Nanditutte empoza yange gy’ali,

akamwa kange nga nkajjuzizza ensonga zange.

Nanditegedde kye yandinzizeemu,

ne neetegereza kye yandiŋŋambye.

Yandimpakanyizza n’amaanyi mangi?

Nedda, teyandinteeseko musango.

Eyo omuntu omutuukirivu asobola okutwalayo ensonga ye,

era nandisumuluddwa omulamuzi wange emirembe n’emirembe.

“Bwe ŋŋenda ebuvanjuba, nga taliiyo;

ne bwe ŋŋenda ebugwanjuba, simusangayo.

Bw’aba akola mu bukiikakkono simulaba,

bw’adda mu bukiikaddyo, simulabako.

Naye amanyi amakubo mwe mpita,

bw’anaamala okungezesa, nzija kuvaamu nga zaabu.

Ebigere byange bimugoberedde;

ntambulidde mu makubo ge nga sikyamakyama.

Saava ku biragiro by’akamwa ke.

Nayagala ebigambo by’akamwa ke okusinga emmere yange gyendya bulijjo.

“Naye yeemalirira, ani ayinza okumuwakanya?

Akola kyonna ekimusanyusa.

Weewaawo ajja kutuukiriza by’asazzeewo okunjolekeza,

era bingi byategese by’akyaleeta.

Kyenva mba n’entiisa nga ndi mu maaso ge;

bwe ndowooza ku bino byonna, ne mmutya.

Katonda anafuyizza nnyo omutima gwange,

Ayinzabyonna antiisizza nnyo.

Naye ekizikiza tekinsirisizza,

ekizikiza ekikutte ennyo ekibisse amaaso gange.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.