Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™
Yobu 16
Yobu Ayanukula
Yobu n’addamu nti,
“Mpulidde ebintu bingi ebiri nga bino;
mwenna muli mikwano gyange egitagasa.
Ebigambo byammwe bingi, tebiikome?
Kiki ekibaluma ne mutalekeraawo kuwakana?
Nange nandyogedde nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange;
nandyogedde ebigambo ebisengeke obulungi ebibanyiga, ne mbanyeenyeza n’omutwe1 gwange.
Naye akamwa kange kandibazizzaamu amaanyi;
ebigambo eby’essuubi okuva mu kamwa kange byandibaleetedde eddembe.
“Ate bwe njogera, obulumi bwange tebuwona,
bwe nsirika era busigalawo.
Mazima ddala, Ayi Katonda, ommazeemu amaanyi;
osaanyiririzzaawo ddala ennyumba yange yonna.
Onsibye n’onyweza ekinnumiririza ddala,
obukovvu bwange bwe bukulaga bwe ndi, kirabika ne ku maaso.
Katonda annumba n’obusungu bwe n’anjuzaayuza,
annumira emba;
omulabe wange antunuulira nkaliriza n’amaaso ge agafumita.
Abantu bayasamya emimwa gyabwe ne bansekerera;
bankuŋŋaanirako ne bankuba empi ku matama.
Katonda ampaddeyo eri omukozi w’ebibi,
era n’ansuula mu mikono gy’ababi.
Nnali bulungi, n’anjuzaamu wakati;
yankwata ku nsingo n’ammenyamu.
Anfudde ssabbaawa,
abakubi b’obusaale banneetoolodde.
Awatali kusaasira, afumita ensigo zange,
omususa gwange ne guyiika ku ttaka.
Annumba, emirundi n’emirundi,
n’anfubutukirako ng’omulwanyi omuzira.
“Neetungidde ebikutiya eby’okukungubagiramu,
ne nkweka obwenyi bwange mu nfuufu.
Nzenna mmyuse amaaso olw’okukaaba,
ekisiikirize ekikwafu ennyo kyetoolodde amaaso gange,
newaakubadde ng’emikono gyange tegirina bibi bye gikoze,
n’okusaba kwange nga kutukuvu.
“Ggwe ensi, tobikka ku musaayi gwange;
nneme okusirisibwa!
Era kaakano omujulirwa wange ali mu ggulu;
omuwolereza wange ali waggulu nnyo ddala.
Mikwano gyange bansekerera,
amaaso gange nga gakulukusa amaziga eri Katonda.
Ku lw’omuntu, yeegayirira eri Katonda
ng’omuntu bwe yeegayiririra mukwano gwe.
“Emyaka mitono eginaayitawo
nga sinnakwata lugendo olw’obutadda.”
Source notes (1)
- Footnote Okunyeenyeza omuntu omutwe kyalaganga nga bw’onyoomye omuntu oyo. Kyali kivumo
Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.
Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.