Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Yobu 14

“Omuntu azaalibwa omukazi,

abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana.

Amulisa ng’ekimuli n’awotoka;

abulawo mangu ng’ekisiikirize, tabeerera.

Otunuulira omuntu afaanana bw’atyo?

Olimuleeta gy’oli asalirwe omusango?

Ani ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu?

Tewali n’omu!

Ennaku z’omuntu zaagererwa,

wagera obungi bw’emyezi gye

era n’oteekawo ekkomo ly’atasobola kusukka.

Kale tomufaako muleke yekka,

okutuusa lw’alimala okutuukiriza emirimu gye ng’omupakasi.

“Wakiri waliwo essuubi ng’omuti guloka:

Bwe gutemebwa, guloka nate,

era ekikolo kyagwo ekiggya tekifa.

Emirandira gyagwo gyandikaddiyidde mu ttaka

era n’ekikonge ne kifiira mu ttaka,

naye olw’emirandira okutambula ne ginoonya amazzi kimulisa

ne kireeta amatabi ng’ekisimbe.

Naye omuntu afa era n’agalamizibwa,

assa ogw’enkomerero n’akoma.

Ng’amazzi bwe gaggwa mu nnyanja

oba omugga bwe gukalira ne guggwaawo,

bw’atyo omuntu bw’agalamira,

era n’atasituka okutuusa eggulu bwe linaggwaawo,

abantu tebajja kuzuukuka oba kuggyibwa mu tulo twabwe.

“Singa kale onkweka emagombe

era n’onziika okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo!

Singa ongerera ekiseera

n’onzijukira!

Omuntu bw’afa, addamu n’abeera omulamu?

Ennaku zange zonna ez’okuweereza

nnaalindanga okuwona kwange kujje.

Olimpita nange ndikuyitaba;

olyegomba ekitonde emikono gyo kye gyatonda.

Ddala ku olwo bw’olibala ebigere byange,

naye tolyekaliriza bibi byange.

Ebisobyo byange biriba bisibiddwa mu kisawo;

olibikka ku kibi kyange.

“Naye ng’olusozi bwe luseebengerera ne luggwaawo,

era ng’ejjinja bwe liva mu kifo kyalyo,

ng’amazzi bwe gaggwereeza amayinja

era ng’okwanjaala kwago bwe kutwala ettaka ly’oku nsi;

bw’atyo bw’azikiriza essuubi ly’omuntu.

Omumalamu amaanyi omuwangula lumu n’aggweerawo ddala;

okyusa enfaanana ye n’omugoba.

Abaana be bwe bafuna ekitiibwa, takimanya,

bwe bagwa, takiraba.

Obulamu bw’omubiri gwe bwokka bw’awulira

ne yeekungubagira yekka.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.