Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Isaaya 21

Obunnabbi Obukwata ku Babulooni

Obunnabbi obukwata ku Ddungu eririraanye ennyanja:

Ng’embuyaga bwe zikunta nga ziyita mu nsi ey’obukiikaddyo,

bw’atyo alumba bw’ava mu ddungu

eririraanye ensi etiisa.

Nfunye okwolesebwa okw’entiisa:

alyamu olukwe akola omulimu gwe, n’omunyazi anyaga.

Eramu, lumba! Obumeedi zingiza!

Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleeta.

Omubiri gwange kyeguvudde gulumwa,

n’obulumi bunkwata, ng’omukazi alumwa okuzaala;

nnyiize olw’ebyo bye mpulira,

bye ndaba bimazeemu amaanyi.

Omutima gwange gutya,

Entiisa endetera okukankana;

Akasendabazaana ke nnali njayaanira,

kanfukidde ekikankano.

Bateekateeka olujjuliro,

bayalirira ebiwempe,

ne balya, ne banywa!

Mugolokoke mmwe abakulembeze,

musiige engabo amafuta.

Kino Mukama ky’aŋŋamba nti,

“Genda ofune omukuumi

akuleetere amawulire ku ebyo by’alaba.

Bw’alaba amagaali

n’ebibinja by’embalaasi,

n’abeebagazi ku ndogoyi

oba abeebagazi ku ŋŋamira

yeekuume,

era yeegendereze.”

Awo omukuumi n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti,

“Mukama wange, buli lunaku nnyimirira ku munaala,

buli kiro mbeera ku mulimu gwange.

Laba omusajja wuuno ajjira mu ggaali,

ng’alina n’ekibinja ky’embalaasi.

Era ayanukula bw’ati nti,

‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde.

Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna

bibetenteddwa wansi ku ttaka.’ ”

Abantu bange, abasesebbuddwa ku gguuliro,

mbategeeza kyempulidde okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri.

Obunnabbi Obukwata ku Edomu

Obunnabbi obukwata ku Duuma:

Waliwo ankowoola okuva mu Seyiri ng’ayogera nti,

“Omukuumi, bunaakya ddi?

Omukuumi, bunaakya ddi?”

Omukuumi ayanukula bw’ati nti,

“Bulikya, era buliziba.

Bw’obaako ne ky’obuuza kibuuze

okomewo nate.”

Obunnabbi Obukwata ku Buwalabu

Obunnabbi obukwata ku Buwalabu:

Mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja,

abasiisira mu bisaka bya Buwalabu,

muleetere abalumwa ennyonta amazzi; mmwe ababeera mu Teema, muleetere abanoonyi b’obubudamu emmere.

Badduka ekitala,

badduka ekitala ekisowole,

badduka omutego ogunaanuddwa,

badduka n’akabi k’entalo.

Bw’ati Mukama bw’aŋŋamba nti, “Mu mwaka gumu, ng’endagaano gye bakolera omukozi bw’eba, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kirikoma. Ku b’obusaale abaliwona, ne ku basajja abalwanyi abazira ab’e Kedali, walisigalawo batono.” Mukama Katonda wa Isirayiri ayogedde.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.