Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Ezeekyeri 35

Obunnabbi ku Edomu

Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunuulira olusozi Seyiri owe obunnabbi, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga, olusozi Seyiri, era ndikugolererako omukono gwange ne nkufuula amatongo. Ndifuula ebibuga byo okuba ebifulukwa era olifuuka matongo, omanye nga nze Mukama.’

“ ‘Kubanga wasiba ekiruyi eky’edda n’owaayo Abayisirayiri okuttibwa mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby’okubonerezebwa kwabwe okwenkomerero, nga bwe ndi omulamu, kyendiva mbawaayo muttiŋŋane era okuttiŋŋana kulibalondoola, bw’ayogera Mukama Katonda. Kubanga temwakyawa kuyiwa musaayi, okuyiwa omusaayi kyekuliva kubalondoola. Ndifuula olusozi Seyiri okuba amatongo, ne nsalako abo bonna abajja n’abagenda. Ndijjuza ensozi zo abafu, n’abattiddwa ekitala baligwa ku busozi bwo, ne mu biwonvu byo, ne mu migga gyo. Ndikufuula matongo emirembe gyonna, so tewaliba alibeera mu bibuga byo, olyoke omanye nga nze Mukama.

“ ‘Mwalowooza nga amawanga ga Yuda ne Isirayiri gammwe, era ne mulowooza okugeetwalira. Naye nze ndi Mukama waabwe, era nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda nti, ndibabonereza olw’obusungu n’obuggya bye mwabalaga nga mubakyawa, balyoke bammanye, mmwe bwe ndibasalira omusango. Oluvannyuma olimanya nga nze Mukama mpulidde byonna eby’obunyoomi bye wayogera eri ensozi za Isirayiri. Nagamba nti, “Bafuuse matongo, era baweereddwayo gye tuli okubamalawo.” Wanneewanirako, n’oteekuma, kyokka ne nkuwulira. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ensi yonna bw’eriba esanyuka, gwe ndikufuula matongo. Olw’okuba nga wasanyuka, omugabo gw’ennyumba ya Isirayiri bwe gwafuuka amatongo nange bwe ntyo bwe ndikukola. Ggwe olusozi Seyiri ne Edomu yonna mulifuuka matongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.’ ”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.