Skip to content
BibleKenya

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Oluyimba 8

Singa wali muganda wange eyakuzibwa mmange

era eyayonka amabeere ga mmange,

nandikusanze ebweru

nandikunywegedde

ne wataba n’omu annyooma.

Nandikukulembedde

ne nkuleeta mu nnyumba ya mmange,

oyo eyangigiriza.

Nandikuwadde wayini okunywa ng’alimu ebyakaloosa,

omubisi ogw’amakomamawanga gange.

Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange

n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatira.

Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira,

temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala

okutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse.

Abemikwano

Ani oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungu

nga yeesigamye muganzi we?

Omwagalwa

Nakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa.

Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo

maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.

Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo,

era ng’akabonero ku mukono gwo,

kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,

obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe.

Kwaka ng’ennimi ez’omuliro,

omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.

Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala

n’emigga tegiyinza kukumalawo.

Singa omuntu awaayo

obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,

asekererwa nnyo.

Abemikwano

Tulina muto waffe

atannamera mabeere,

naye tulikola tutya

bw’alituuka okwogerezebwa?

Singa abadde bbugwe

twandimuzimbyeko eminaala egya ffeeza,

singa abadde luggi

twandimuggalidde na mivule.

Omwagalwa

Ndi bbugwe

era n’amabeere gange gali ng’ekitikkiro,

noolwekyo mu maaso ge,

mmufuukidde aleeta emirembe.

Sulemaani yalina ennimiro y’emizabbibu e Baaluka Kamooni,

n’agisigira abalimi.

Buli omu ku bo yamusalira

ebitundu bya ffeeza lukumi.

Ennimiro yange ey’emizabbibu, yange,

ebitundu olukumi bibyo ggwe Sulemaani,

ebitundu ebikumi bibiri by’abo abalabirira ennimiro.

Owoomukwano

Ggwe abeera mu nnimiro

ne mikwano gyo nga weebali,

ka mpulire eddoboozi lyo.

Omwagalwa

Yanguwa okuvaayo eyo,

odduke mangu ng’empeewo

oba ng’ennangaazi ento,

oddukire ku nsozi ezijjudde ebyakaloosa.

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014. Copyright © Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. Source: Open.Bible. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-11-09.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.