Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014
Zabbuli 123
Oluyimba nga balinnya amadaala.
Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we1,
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
okutuusa lw’alitusaasira.
Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
n’okunyoomebwa ab’amalala.
Source notes (1)
- Footnote Mukama w’omuddu ne mugole w’omuddu omukazi baakozesanga bubonero okubaako kye bategeeza abaddu baabwe
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014. Copyright © Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. Source: Open.Bible. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.
Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-11-09.