Skip to content
BibleKenya

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaaya 31

Zibasanze abo Abeesiga Misiri

Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa,

abeesiga embalaasi,

abeesiga amagaali gaabwe amangi,

abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi

ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri

wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.

Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi;

tajjulula bigambo bye.

Aligolokokera ku nnyumba y’abatali batuukirivu,

ne ku abo abayamba abakozi b’ebibi.

Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda

n’embalaasi zaabwe mibiri bubiri.

Katonda bw’agolola omukono gwe

oyo ayamba, alyesittala,

n’oyo ayambibwa aligwa

era bombi balizikiririra wamu.

Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti,

“Ng’empologoma bwe wuluguma,

empologoma ey’amaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayo

era newaakubadde ng’ekibinja ky’abasumba

kiyitibwa awamu okugirumba,

tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe,

newaakubadde oluyoogaano lwabwe.

Bw’atyo ne Mukama Katonda ow’Eggye bw’aliserengeta,

okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo.

Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu,

bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi;

alikikuuma, n’akiwonya,

alikiyitamu n’akirokola.”

Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri. Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.

“Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu;

ekitala ekitali ky’abo abafa kirimusaanyaawo.

Alidduka ekitala,

n’abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’amaanyi n’obuwaze.

Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya,

n’abaduumizi baabwe balitekemuka omutima olw’okulaba ebbendera ey’olutalo,”

bw’ayogera Mukama

nannyini muliro oguli mu Sayuuni,

era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi.

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014. Copyright © Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. Source: Open.Bible. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-11-09.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.