Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Isaaya 62

Erinnya lya Sayuuni Eriggya

Ku lwa Sayuuni ssiisirike,

era ku lwa Yerusaalemi ssiiwummule,

okutuusa nga obutuukirivu bwe butemagana ng’emmambya esala,

obulokozi bwe ng’ettaala eyaka.

Amawanga galiraba obutuukirivu bwo,

era ne bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo.

Oliyitibwa erinnya epya

akamwa ka Mukama lye kalikuwa.

Olibeera ngule etemagana mu mikono gya Mukama,

enkuufiira y’obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.

Ataliddayo kuyitibwa nti, Eyalekebwa,

ensi yo teriddamu kuyitibwa nti, Yazika.

Naye oliyitibwa nti, Gwe nsanyukira,

n’ensi yo eyitibwe nti, Eyafumbirwa.

Kubanga Mukama akusanyukira

era ensi yo eribeera ng’omukazi afumbiddwa.

Kubanga ng’omuvubuka bwawasa omuwala omuto

bw’atyo eyakutonda bwalikulabirira.

Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gw’awasizza,

bw’atyo Katonda bwalikusanyukira.

Ntadde abakuumi ku bbugwe wo,

ggwe Yerusaalemi abataasirike emisana n’ekiro.

Mmwe abakoowoola Mukama

temuwummula.

Era temumuganya kuwummula okutuusa nga azimbye Yerusaalemi

era ng’agifudde ettendo mu nsi.

Mukama yalayira n’omukono gwe ogwa ddyo

era n’omukono gwe ogw’amaanyi:

“Siriddayo nate kuwaayo ŋŋaano yo kubeera mmere y’abalabe bo,

era bannaggwanga tebaddeyo kunywa nvinnyo yo gy’otawaanidde.

Naye abo abagikungula be baligirya

ne batendereza Mukama,

n’abo abanoga emizabbibu

be baliginywera mu mpya z’omu watukuvu wange.”

Muyiteemu, muyite mu miryango mugende!

Muzimbe oluguudo,

mulugyemu amayinja.

Muyimusize amawanga ebbendera.

Laba Mukama alangiridde

eyo yonna ensi gy’ekoma,

nti, “Gamba omuwala wa Sayuuni nti,

‘Laba omulokozi wo ajja,

Laba aleeta n’ebirabo bingi,

n’abantu b’anunudde bamukulembedde.’ ”

Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu,

Abanunule ba Mukama,

ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga Mukama ky’ayagala,

Ekibuga Ekitakyali ttayo.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.