Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Isaaya 47

Babulooni Esalirwa Omusango

“Omuwala wa Babulooni embeerera,

kakkana wansi otuule mu nfuufu,

tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka,

ggwe omuwala w’Abakaludaaya.

Ekibuga ekitawangulwangako.

Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.

Ddira olubengo ose obutta.

Ggyako akatimba ku maaso,

situla ku ngoye z’oku magulu

oyite mu mazzi.

Obwereere bwo bulibikkulwa;

obusungu bwo bulyeraga.

Nzija kuwoolera eggwanga;

tewali muntu yenna gwe ndirekawo.”

Omununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye,

ye Mutukuvu wa Isirayiri.

“Tuula mu kasirise

yingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya,

tebakyakuyita kabaka omukazi

afuga obwakabaka obungi.

Nnali nsunguwalidde abantu bange,

ne nyonoonesa omugabo gwange.

Nabawaayo mu mikono gyo,

n’otobasaasira n’akatono.

N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.

Wayogera nti,

‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’

naye n’otolowooza ku bintu bino

wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.

“Kale nno kaakano wuliriza kino,

ggwe awoomerwa amasanyu

ggwe ateredde mu mirembe gyo,

ng’oyogera mu mutima gwo nti,

‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze.

Siribeera nnamwandu

wadde okufiirwa abaana.’

Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu,

eky’okufiirwa abaana

n’okufuuka nnamwandu.

Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu,

newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira,

n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.

Weesiga obutali butuukirivu bwo,

n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’

Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya,

bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’

Kyokka ensasagge erikujjira

era tolimanya ngeri yakugyeggyako;

n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi;

akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.

“Weeyongere nno n’obulogo bwo

n’obufumu bwo obwayinga obungi,

bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo.

Oboolyawo olibaako kyoggyamu,

oboolyawo olikolawo ekyobulabe.

Amagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya.

Abalagulira ku munyeenye basembera,

n’abo abakebera emmunyeenye,

era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako.

Laba, bali ng’ebisusunku

era omuliro gulibookya!

Tebalyewonya

maanyi ga muliro.

Tewaliiwo manda ga kukubugumya

wadde omuliro ogw’okwota!

Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka;

b’obonyeebonye nabo

b’oteganidde okuva mu buto bwo.

Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye

era tewali n’omu ayinza okukulokola.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.