Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Isaaya 18

Obunnabbi Obukwata ku Kuusi

Zikusanze, ggwe ensi ey’ebiwaawaatiro ebikwakwaya,

eri emitala w’emigga gya Kuusi,1

etuma ababaka ne bagendera mu maato

ag’ebitoogo ku nnyanja.

Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,

eri abantu abatiibwa abeewala n’ab’okumpi,

eggwanga ery’amaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa,

ensi eyawulwamu emigga.

Mmwe mwenna abantu abali mu nsi,

mmwe ababeera ku nsi,

bendera lweriwanikibwa ku nsozi,

muligiraba,

era ekkondeere bwe lirifuuyibwa,

muliriwulira.

Kubanga bw’atyo Mukama bw’aŋŋambye nti,

“Ndyesirikira ntunule nga nsinziira ewange,

ng’olubugumu olutemagana mu musana,

ng’ekire ky’omusulo mu lubugumu olw’omu biro eby’amakungula.”

Kubanga okukungula kuliba tekunatuuka,

okumulisa nga kuwedde, n’ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengedde,

aliwawaagula obutabi n’ebiwabyo,

n’amatabi agalanda aligasalira.

Gonna galirekerwa ennyonyi ez’oku nsozi ezirya ebiramu

n’ensolo ez’ensi.

Era ennyonyi ezirya ebiramu zirye okwo mu biseera by’ekyeya,

n’ensolo zonna ez’omu nsiko zirye okwo mu biseera by’obunnyogovu.

Mu kiseera ekyo Mukama Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo,

ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,

abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi,

ensi ey’eryanyi,

eyawulwamu emigga,

ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya Mukama Ayinzabyonna.

Source notes (1)
  1. Footnote Mu biro bya Isaaya, waaliwo bafalaawo aba Esiyopya abaafuganga Misiri. Abo be baanoonya okubeerwa okuva eri Abapalesitayini, balwanyise Bwasuli

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.