Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Isaaya 12

Okwebaza Mukama olw’Obulokozi bwe

Ku lunaku olwo oligamba nti,

“Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda;

newaakubadde nga wansunguwalira,

obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.

Laba Katonda bwe bulokozi bwange;

nzija kumwesiga era siritya;

kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,

era afuuse obulokozi bwange.”

Munaasenanga n’essanyu amazzi

okuva mu nzizi ez’obulokozi.

Era ku lunaku olwo mulyogera nti,

“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,

mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,

mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.

Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;

muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.

Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,

kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.