Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Isaaya 10

Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya,

n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,

okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde;

era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe,

ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe,

n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!

Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango

ne mu kuzikirira okuliva ewala?

Muliddukira w’ani alibayamba?

Obugagga bwammwe mulibuleka wa?

Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe

oba okuba mu abo abattiddwa.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,

era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

Omusango Katonda Gwalisalira Bwasuli

“Zikusanze Bwasuli, omuggo gw’obusungu bwange,

era omuggo gw’ekiruyi kyange.

Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama,

era mmusindika eri abantu abansunguwazizza,

abanyage, ababbire ddala,

n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.

Naye kino si kye kigendererwa kye,

kino si ky’alowooza.

Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza,

okumalirawo ddala amawanga mangi.

‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera.

‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi,

ne Kamasi nga Alupaadi,

ne Samaliya nga Ddamasiko?

Ng’omukono gwange bwe gwawamba obwakabaka obusinza bakatonda ababajje,

abasinga n’abo ab’omu Yerusaalemi ne Samaliya,

nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala

si bwe nnaakola Yerusaalemi ne bakatonda baabwe ababajje?’ ”

Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala. Kubanga yayogera nti,

“ ‘Bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange,

era n’olw’amagezi gange,

kubanga ndi mukalabakalaba:

Najjulula ensalo z’amawanga ne nnyaga obugagga bwabwe,

ng’ow’amaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe.

Ng’omuntu bw’akwata mu kisu,

omukono gwange gw’akunuukiriza ne gukwata mu bugagga bw’amawanga;

ng’abantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo,

bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna,

tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro,

newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’ ”

Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa?

Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa?

Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa,

oba omuggo okusitula oyo atali muti.

Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna,

kyaliva aweereza obukovvu bulye abasajja be abaagejja,

era wansi w’okujaganya n’ekitiibwa kye akoleeze wo omuliro

ogwokya ng’oluyiira.

Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro,

n’Omutukuvu waabwe abeere olulimi lw’omuliro,

mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala

amaggwa ge n’emyeramannyo gye.

Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye,

n’ennimiro ze, engimu,

ng’omusajja omulwadde bwaggweerawo ddala.

N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo

nga n’omwana ayinza okugibala.

Abalisigalawo ku Isirayiri

Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,

n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo

nga tebakyeyinulira ku oyo1

eyabakuba

naye nga beesigama ku Mukama Katonda,

omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.

Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo

kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.

Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja,

abalikomawo nga balamu baliba batono.

Okuzikirira kwo kwa kubaawo

kubanga kusaanidde.

Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alireeta

enkomerero eteriiko kubuusabuusa nga bwe yateekateeka entuuko mu nsi yonna.

Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti,

“Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni,

temutyanga Abasuli,

newaakubadde nga babakuba n’oluga

era nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola.

Kubanga mu kaseera katono nnyo

obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”

Mukama Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu

nga bwe yakuba aba Midiyaani ku lwazi lw’e Olebu.

Era aligololera oluga lwe ku nnyanja

nga bwe yakola e Misiri.

Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo,

n’ekikoligo kye kive ku nsingo yo;

ekikoligo kirimenyebwa

olw’obugevvu bwo.

Laba eggye ly’omulabe lituuse liwambye Yagasi,

liyise mu Migulooni,

era mu Mikumasi gye balireka emigugu gyabwe.

Bayise awavvuunukirwa, e Geba

ne basulayo ekiro kimu,

Laama akankana,

Gibea wa Sawulo adduse.

Kaaba n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe omuwala wa Galimu!

Ggwe Layisa wuliriza!

Ng’olabye Anasosi!

Madumena adduse,

abantu b’e Gebimu beekukumye.

Olwa leero bajja kusibira Nobu,

balyolekeza ekikonde kyabwe

eri olusozi lwa Muwala wa Sayuuni,

akasozi ka Yerusaalemi.

Laba, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,

alitema amatabi n’entiisa

n’emiti emiwanvu n’emiwagguufu giritemerwa ddala,

n’emiti emiwanvu girikkakkanyizibwa.

Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira;

Lebanooni aligwa mu maaso g’oyo Ayinzabyonna.

Source notes (1)
  1. Footnote Kino kyogera ku bantu ba Bwasuli

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.