Skip to content
BibleKenya

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™

Olubereberye 10

Bazzukulu ba Nuuwa

Bano be bazzukulu ba Nuuwa, Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lw’amataba.

Bazzukulu ba Kuusi

Batabani ba Yafeesi:

Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali ne Meseki ne Tirasi.

Batabani ba Gomeri be bano:

Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma.

Batabani ba Yivani baali:

Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu ne Dodanimu. (Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lw’ennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ng’ennyumba zaabwe n’amawanga gaabwe bwe biri.)

Bazzukulu ba Kaamu

Batabani ba Kaamu be bano:

Kuusi, ne Misiri, ne Puuti,1 ne Kanani.

Batabani ba Kuusi be bano:

Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka.

Batabani ba Laama baali:

Seeba ne Dedani.

Kuusi ye yazaala Nimuloodi; ye yasooka okuba omuntu ow’amaanyi ennyo ku nsi. Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.” Obwakabaka bwe bwatandikira Baberi, ne Eneki ne Akudi ne Kalune, nga byonna bya mu nsi Sinali.2 Bwe yava mu nsi eyo n’agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala ne Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu.

Mizulayimu oba Misiri ye kitaawe wa

Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu, ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti) ne Kafutorimu.

Kanani ye yazaala

Sidoni, omwana we omubereberye, ne Keesi, n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi, n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini, n’Abaluvada, n’Abazemali, n’Abakamasi n’ebika eby’omu Kanani ne babuna wonna. Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali n’okutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa.

Abo be bazzukulu ba Kaamu, mu nda zaabwe ne nnimi zaabwe, mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.

Bazzukulu ba Seemu

Seemu kitaawe w’abo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana.

Abaana ba Seemu be bano:

Eramu, ne Asuli,3 ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.

Batabani ba Alamu:

Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri ne Masi.

Alupakusaadi ye kitaawe wa4 Seera.

Seera ye kitaawe wa Eberi.

Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi,

kubanga we yazaalirwa ensi yali yeesazeemu, muganda we ye yali Yokutaani.

Yokutaani ye yali kitaawe wa

Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera, ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula, ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba, ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu; bano bonna baali batabani ba Yokutaani.

Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu eky’ensozi ku luuyi olw’ebuvanjuba.

Abo be bazzukulu ba Seemu, mu nnyumba zaabwe, ne mu nnimi zaabwe, ne mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.

Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba.

Source notes (4)
  1. Footnote Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya
  2. Footnote Sinali y’ensi ya Babulooni ey’edda.
  3. Footnote Asuli ly’erinnya ery’edda erya Busuuli.
  4. Footnote yali kitaawe wa Kayinaani, ne Kayinaani nga ye kitaawe wa Seera

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Source: eBible.org. Typeset from the source files; no intended changes to scripture wording. BibleKenya is not endorsed by the rights holder.

Full source notice & licence · CC BY-SA 4.0 · SourceEdition imported 2026-10-25.

BibleKenya

Reader settings

Theme
Font
Alignment
Reading width

Saved in this browser and used offline too. Press ? for keyboard shortcuts.